Ezekiel 38:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ogamba nti: “Nzija kulumba ensi ey'ebyalo okutali bbugwe; nzija kuzinda abantu abeetuulidde entende abatakirindiridde, bonna abasula awatali bbugwe, nzigi na miyingo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muligamba nti, “Ndirumba ensi ey’ebyalo ebitaliiko nkomera, ndirumba eggwanga erijjudde emirembe era eriteeteeseteese, bonna nga babeera mu bigango okutali nkomera newaakubadde ebyuma eby’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale olyogera nti, Ndyambuka mu nsi ey'ebyalo ebitaliiko nkomera; ndigenda eri abo abeegolodde, abatuula nga tebaliiko kye batya, bonna nga babeerera awo awatali bbugwe so nga tebalina bisiba newakubadde enzigi:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oligamba nti: ‘Nja kugenda nnumbe ensi erimu ebyalo ebitazimbiddwako bigo. Nja kulumba abo abateredde emirembe nga tebaliiko kabi ke beekengera, era nga tebalinaawo ntegeka yonna ey'okwerinda.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale olyogera nti Ndyambuka mu nsi ey'ebyalo ebitaliiko nkomera; ndigenda eri abo abeegolodde, abatuula nga tebaliiko kye batya, bonna nga babeerera awo awatali babbugwe so nga tebalina bisiba newakubadde enzigi: