Ezekiel 38:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kwaya, ntwale omunyago n'omukono gwange ngusse ku bifo amatongo ebizzeemu okusulibwamu ne ku bantu abakuŋŋaanyiziddwa okuva mu mawanga, abagagga b'amagana n'ebintu, abasula mu makkati g'ensi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibba ne nnyaga ne nnumba ebifo ebyazika, kaakano ebibeeramu abantu, abantu abaakuŋŋaanyizibwa okuva mu mawanga ag’enjawulo gye babeera, abalina obugagga bw’ente n’ebintu ebirala, ababeera wakati mu nsi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okunyaga ebintu, n'okutwala omunyago, nga nnumba ebifo ebyazika, kaakano ebibeeramu abantu abakuŋŋaanyizibwa okuva mu mawanga, abafunye ebisibo n'ebintu, ababeera wakati w'ensi zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olinyaga ne weefunira omunyago, mu bifo ebyali birekeddwawo ne bizika, kaakano ebirimu abantu abaakuŋŋaanyizibwa ne baggyibwa mu mawanga, abafunye amagana, era ababeera wakati w'ensi yonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okunyaga omunyago n'okunyaga omuyiggo; okukyusiza omukono gwo ku bifo eby'ensiko ebituulwamu kaakano, n'abantu abakuŋŋaanyizibwa okuva mu mawanga, abafunye ebisibo n'ebintu, ababeera wakati w'ensi zonna.