Ezekiel 38:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Saba ne Dedani n'abasuubuzi b'e Tarusisi n'ebyalo bye byonna balikugamba nti: “Ozze kunyagulula? Okuŋŋaanyizza ebbiina lyo lyonna okunyaga, otwale ffeeza ne zaabu, otwale amagana, oweze nnyo olwayo?” ’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Seeba ne Dedani n’abasuubuzi ab’e Talusiisi n’ab’ebyalo bye bonna balibabuuza nti, “Muzze kunyaga? Mukuŋŋaanyizza ebibinja byammwe mutunyage, mutwale effeeza yaffe ne zaabu yaffe, n’ebisolo byaffe n’ebintu byaffe ebirala, mutwale omunyago omunene?” ’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Seeba ne Dedani n'abasuubuzi ab'e Talusiisi, n'ab'ebyalo bye bonna balibabuuza nti, ‘Muzze okunyaga? Mukuŋŋaanyizza ebibinja byammwe mutunyage, mutwalire ddala effeeza n'ezaabu, ensolo n'ebintu byaffe, mutwale omunyago mungi?’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu b'e Seeba ne Dedani, n'abasuubuzi b'e Tarusiisi n'ebifo byayo byonna, abasuubula ebingi, n'abasuubula ebitono, balikubuuza nti: ‘Ozze kunyaga munyago? Okuŋŋaanyizza eggye lyo, okole omuyiggo gwa munyago? Ojjiridde kufuna ffeeza na zaabu, na kutwala bintu na nsolo, oweze omunyago mungi?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Seeba ne Dedani n'abasuubuzi ab'e Talusiisi, wamu n'empologoma ento zaayo zonna, balikugamba nti Ozze kunyaga munyago? okuŋŋaanyizza ekibiina kyo kunyaga muyiggo? okutwalira ddala effeeza n'ezaabu, okutwalira ddala ensolo n'ebintu, okunyaga omunyago mungi?