Ezekiel 38:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kale nno mwana w'omuntu, langa, ogambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Mu budde obwo abantu bange Yisirayeli bwe baliba batebenkedde, ggwe oliba tokimanyi?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo omwana w’omuntu kyonoova owa obunnabbi, n’ogamba Googi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku olwo abantu bange Isirayiri bwe baliba ng’abatudde mirembe, temulikiraba?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“N'olwekyo omwana w'omuntu, yogera ogambe Googi nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ku lunaku olwo abantu bange Isiraeri lwe balituula nga tebaliiko kye batya, tolikimanya?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale ggwe omuntu, langa ogambe Googi nti: ‘Mukama Afugabyonna agamba nti: Ku lunaku olwo abantu bange Abayisirayeli bwe baliba batebenkedde mirembe, olimanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, omwana w'omuntu, lagula ogambe Googi nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ku lunaku olwo abantu bange Isiraeri lwe balituula nga tebaliiko kye batya, tolikimanya?