Ezekiel 38:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olinaawuuka eyo ewuwo ewala emambuka, ggwe n'amawanga mangi agali naawe, bonna nga beebagadde ku mbalaasi, ebbiina eddene, eggye eddene.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olijja okuva mu kifo kyo mu bukiikakkono obuli ewala ennyo, ggwe n’amawanga mangi wamu naawe, bonna nga beebagadde embalaasi, enkuyanja y’abantu, era eggye eddene.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale olijja ng'ova mu kifo kyo mu bukiikakkono obuli ewala ennyo, ggwe n'amawanga mangi wamu naawe, bonna nga beebagadde embalaasi, ekibiina kinene, era eggye ddene.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oliva eyo gy'obeera ewala mu bukiikakkono, n'ojja n'eggye ddene era ery'amaanyi, ery'abaserikale abava mu mawanga amangi, bonna nga beebagadde embalaasi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale olijja ng'ova mu kifo kyo mu njuyi ez'obukiika obwa kkono ezikomererayo, ggwe n'amawanga mangi wamu naawe, bonna nga beebagadde embalaasi, ekibiina kinene, era eggye ddene: