Ezekiel 38:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olirumba abantu bange Yisirayeli ng'ekire ekibisse ensi. Gye bujja, ggwe Gogi, nzija kukuwendulira eri ensi yange, amawanga gammanye bwe ndiyita mu ggwe okulaga mu maaso gaabwe nga bw'endi omutukuvu.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulitabaala abantu bange Isirayiri ng’ekire ekibikka ku nsi. Era mu nnaku ez’oluvannyuma ndikulinnyisa n’olumba ensi yange, ggwe Googi, amawanga gamanye. Era ndyolesa obutukuvu bwange mu maaso gaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olitabaala abantu bange Isiraeri, ng'ekire ekibikka ku nsi. Olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma ggwe Googi ndikutabaaza ensi yange, amawanga gakumanye, era nditukuzibwa mu maaso gaabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
olumbe abantu bange Abayisirayeli ng'oli ng'ekire ekibisse ensi. Ekiseera bwe kirituuka, ndikutuma n'olumba ensi yange, amawanga galyoke gammanye, bwe galiraba bwe nkozesezza ggwe Googi okulaga bwe ndi Omutuukirivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era olitabaala abantu bange Isiraeri, ng'ekire okubikka ku nsi; olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma ndikutabaaza ensi yange, amawanga gakumanye, bwe nditukuzibwa mu ggwe, ai Googi, mu maaso gaabwe.