Ezekiel 38:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Si ggwe nayogerako mu mirembe giri nga mpita mu baweereza bange abalanzi ba Yisirayeli abaalanga mu mirembe egyo okumala emyaka nti ndibakuwendulira?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Si mmwe be nayogerako edda nga mpita mu baddu bange bannabbi ba Isirayiri, abaawa obunnabbi mu biro ebyo okumala ebbanga, nga ŋŋenda kubasindika mubalumbe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Ggwe wuuyo gwe nnayogererako edda mu baddu bange bannabbi ba Isiraeri, abaayogerera emyaka emingi nga ndikusindika okubatabaala bo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe wuuyo gwe nayogerako edda, nga mpita mu baweereza bange abalanzi ba Yisirayeli, bwe baalanga okumala emyaka mingi nti ndikusindika okubalumba.’ ” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ggwe wuuyo gwe nnayogererako edda mu baddu bange bannabbi ba Isiraeri, abaalaguliranga emyaka emingi mu nnaku ezo nga ndikusindika okubatabaala bo?