Ezekiel 38:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino kye kiribaawo ku olwo: Gogi bw'alirumba ensi ya Yisirayeli, Omukama Katonda y'agamba, omuliro gw'obusungu bwange gulitumbuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ku lunaku olwo, Googi bw’alirumba ensi ya Isirayiri, ndiraga obusungu bwange, bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka ku lunaku olwo Googi bw'alitabaala ensi ya Isiraeri, ndisumulula ekiruyi kyange, bw'ayogera Mukama Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ku lunaku olwo Googi lw'alirumba ensi ya Yisirayeli, ndisuukiira olw'obusungu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka ku lunaku olwo Googi bw'alitabaala ensi ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda, ekiruyi kyange kiririnnya mu nnyindo zange.