Ezekiel 38:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kulumwa mu mutima ne mu busungu bwange obubuubuuka ne ŋŋamba nti mu lunaku olwo walibaawo akayuuguumo akanene mu nsi ya Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu buggya bwange ne mu busungu bwange nnangirira nga njogera nti walibaawo musisi ow’amaanyi mu nsi ya Isirayiri;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga njogeza obuggya bwange n'omuliro ogw'obusungu bwange nti Mazima ku lunaku olwo mu nsi ya Isiraeri mulibaamu okukankana okunene;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga nzijudde obuggya olw'abantu bange era n'obusungu obubuubuuka, nnangirira nti ku lunaku olwo, walibaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi mu nsi ya Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga njogezezza obuggya bwange n'omuliro ogw'obusungu bwange nti Mazima ku lunaku olwo mu nsi ya Isiraeri mulibaamu okukankana okunene;