Ezekiel 38:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyennyanja mu nnyanja n'ebinyonyi eby'omu bbanga birikankana nga ndabise, ko n'ebisolo eby'ettale na buli kitonde ekyewalula ku ttaka, n'abantu bonna abali ku nsi. Ensozi zirisiguukulukuka, enjazi zirisebbuuka, na buli kisenge kirigwa ku ttaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ennyonyi ez’omu bbanga, n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko, ne buli kyewalulira ku ttaka, n’abantu bonna abali ku nsi balikankana olw’okujja kwange. Ensozi zirisuulibwa n’ebbanga liribulunguka, ne buli bbugwe aligwa ku ttaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n'ennyonyi ez'omu bbanga, n'ensolo ez'omu nsiko, n'ebintu byonna ebyewalula ku ttaka, n'abantu bonna abali ku maaso g'ensi n'okukankana balikankanira okujja kwange, n'ensozi zirisuulibwa, n'amabanga galigwa, na buli bbugwe aligwa wansi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyennyanja eyo mu nnyanja n'ebinyonyi ebibuuka mu bbanga, n'ebisolo eby'omu ttale, n'ebintu byonna ebyewalula, ebyewalulira ku ttaka, n'abantu bonna abali ku nsi birikankanira wamu olw'okutya kubanga ntuuse. Ensozi zirisuulibwa wansi, n'ebifo eby'okubuserengeto birigwa, na buli kigo kirigwa ku ttaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n'ennyonyi ez'omu bbanga, n'ensolo ez'omu nsiko, n'ebintu byonna, ebyewalula ebyewalula ku ttaka, n'abantu bonna abali ku maaso g'ensi n'okukankana balikankanira okujja kwange, n'ensozi zirisuulibwa, n'amabanga galigwa, na buli bbugwe aligwa wansi.