Ezekiel 38:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndisindikira Gogi ekitala ku nsozi zange zonna, Omukama Katonda y'agamba. Buli omu ekitala kye kiryolekera munne.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nditumira Googi ekitala okuva mu nsozi zange zonna, bw’ayogera Mukama Katonda, era buli muntu alirwana ne muganda we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ensozi zange zonna ndiziyitira ekitala okumulwanyisa, bw'ayogera Mukama Katonda: buli muntu alirwana ne muganda we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti, ndiyita abakutte ebitala bave mu nsozi zange zonna, bajje balwanyise Googi oyo. N'abasajja b'omu ggye lye, balitemagana ebitala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ensozi zange zonna ndiziyitira ekitala okumulwanyisa, bw'ayogera Mukama Katonda: ekitala kya buli muntu kirirwana ne muganda we.