Ezekiel 38:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndimubonereza ne kawumpuli, n'okuyiwa omusaayi. Nditonnyesa ku ye ne ku ggye lye ne ku mawanga gonna agali naye enkuba nnamuttikwa n'amayinja g'omuzira n'ebibiriiti ebyokya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibabonereza ne kawumpuli n’okuyiwa omusaayi, era nditonnyesa amatondo ag’enkuba amanene nga mulimu omuzira n’omuliro ku ye, n’eggye lye ne ku mawanga amangi agaamwegattako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndibabonereza ne kawumpuli n'okuyiwa omusaayi, era nditonnyesa enkuba erimu omuzira era n'omuliro ku ggye lye ne ku mawanga amangi agali naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikozesa kawumpuli n'okuyiwa omusaayi, mmubonereze. Era ndimuyiwako, ye n'eggye lye n'amawanga amangi agali naye, nnamutikkwa w'enkuba, omuli amayinja g'omuzira n'olunyata lw'omuliro, n'obuganga ng'obw'ebibiriiti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndiwoza naye ne kawumpuli n'omusaayi; era ndimutonnyesaako ne ku ggye lye ne ku mawanga amangi agali naye oluwandaggirize olwanjaala n'amayinja amanene ag'omuzira n'omuliro n'ekibiriiti.