Ezekiel 38:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwentyo ndiraga obukulu bwange n'obutukuvu, ne neemanyisa mu maaso g'amawanga amangi. Olwo balimanya nti nze Mukama.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwo ndyolesa obukulu bwange n’obutukuvu bwange, era ndyeraga eri amawanga mangi, ne balyoka bamanya nga Nze Mukama Katonda.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale ndyegulumiza ne ndaga ekitiibwa kyange mu maaso g'amawanga amangi; kale balimanya nga nze Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe ntyo ndiraga amawanga amangi bwe ndi oweekitiibwa era omutuukirivu. Olwo balimanya nga Nze Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndyegulumiza ne nneetukuza, era ndyemanyisa mu maaso g'amawanga amangi; kale balimanya nga nze Mukama.