Ezekiel 38:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era ne Gomeri n'amagye ge gonna, ne Beti-Togaruma okuva emambuka ddala n'eggye lye lyonna, n'akeesedde k'abantu bangi nga kali naawe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era ne Gomeri n’eggye lye lyonna, n’ennyumba ya Togaluma okuva mu bukiikakkono obw’ewala ddala n’eggye lyabwe lyonna, amawanga mangi nga gali wamu nammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gomeri n'eggye lye lyonna; ennyumba ya Togaluma okuva ewala mu bukiikakkono n'eggye lye lyonna: amawanga mangi nga gali naawe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaserikale bonna abava mu nsi Gomeri ne Beti Tagaruma ewala mu bukiikakkono, n'abava mu mawanga amalala mangi, bonna baliba naawe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gomeri n'eggye lye lyonna; ennyumba ya Togaluma, mu njuyi ez'ensi ezikomererayo; n'eggye lye lyonna: amawanga mangi nga gali naawe.