Ezekiel 38:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Weetegeke, weekembe, ggwe n'ebbiina lyonna erikukuŋŋaaniddeko, oliduumire.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Weeteeketeeke beera bulindaala ggwe n’ekibinja kyonna ekikwetoolodde; obaduumire.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Beera nga weeteeseteese, weewaawo, weetegeke, ggwe n'ebibiina byo byonna abakuŋŋaanidde gy'oli, obeere omugabe waabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Weetegeke, obe nga weeteeseteese n'amagye go gonna agakukuŋŋaaniddeko, era obe omukuumi waago.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Beera nga weeteeseteese, weewaawo, weetegeke, ggwe n'ebibiina byo byonna abakuŋŋaanidde gy'oli, obeere omugabe gye bali.