Ezekiel 38:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga wayise ennaku nnyingi ojja kukungibwa, mu myaka egijja ojja kuzinda ensi eyaakava mu lutalo, abantu baayo abaakuŋŋaanyizibwa nga bava mu nsi nnyingi ku nsozi za Yisirayeli, eyali erekeddwa awo ettayo. Abantu baggyibwa mu mawanga, kati bonna batebenkedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma olw’ennaku ennyingi mulikuŋŋaanyizibwa era mu myaka egy’oluvannyuma mulirumba ensi eyaakava mu lutalo, ensi abantu mwe baakuŋŋanyizibwa okuva mu mawanga amangi ku nsozi za Isirayiri ezalekebwawo. Abantu baayo baggyibwa mu mawanga, kaakano bonna batudde mirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma olw'ennaku ennyingi mulikuŋŋaanyizibwa era mu myaka egy'oluvannyuma mulirumba ensi eyaakava mu lutalo, omukuŋŋaanyizibwa amawanga amangi, ku nsozi za Isiraeri, ezaali ensiko etevaawo: naye eggibwa mu mawanga, era balituula nga tebaliiko gwe batya yenna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera kiwanvu bwe kiriyitawo, olirambulwa. Bwe waliyitawo emyaka, olirumba ensi ya Yisirayeli eyakosebwa ennyo olutalo. Yalekebwa awo ng'efuuse matongo okumala ebbanga ggwanvu, naye kaakano, abantu baamu baakomezebwawo nga baggyibwa mu mawanga mangi, era babeera mirembe ku nsozi z'ensi yaabwe eyo nga tebalina kye batya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennaku nnyingi nga ziyiseewo olijjirwa: mu myaka egy'enkomerero olireetebwa mu nsi ekomezebwawo okugiggya nu kitala, ekuŋŋaanyizibwa okuva mu mawanga amangi, ku nsozi za Isiraeri, ezaabanga ensiko etevaawo: naye eggibwa mu mawanga, era balituula nga tebaliiko kye batya, bonna.