Ezekiel 38:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe n'amagye go gonna n'amawanga mangi agali naawe olyambuka n'ozinda ng'omuyaga, oliba ng'ekire ekibisse ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ggwe n’eggye lyo lyonna n’amawanga agali awamu naawe, muliyambuka mubalumbe, era mulibalumba ng’omuyaga, era muliba ng’ekire ekibisse ku nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale olyambuka n'obalumba nga kibuyaga, oliba ng'ekire okubikka ku nsi, ggwe n'eggye lyo lyonna n'amawanga mangi nga gali naawe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno ggwe n'eggye lyo n'ab'amawanga amangi abali naawe, mulirumba nga kibuyaga, ne mubikka ensi eyo ng'ekire bwe kibikka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale olyambuka olijja nga kibuyaga, oliba ng'ekire okubikka ku nsi, ggwe n'eggye lyo lyonna n'amawanga mangi nga gali naawe.