Ezekiel 39:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tebalisennya nku mu ttale oba okuzitema mu kibira, kubanga ebyokulwanyisa bye balyokya ng'enku. Balinyagulula abo abaabanyagululanga, ne baaya abo abaabaayanga, Omukama Katonda y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tekiribeetaagisa kutyaba nku ku ttale so tebalitema nku mu bibira, kubanga ebyokulwanyisa bye balikozesa ng’enku. Balinyaga abo abaabanyaga, ne babba abo abaababba, bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tekiribeetaagisa kutyaba nku mu ttale so tebalitema nku zonna mu kibira; kubanga eby'okulwanyisa bye balikozesa ng'enku, balinyaga abo abaabanyaganga, era balibba abo abaabalabanga, bw'ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baliba tebeetaaga kutyaba nku mu ttale, wadde okutema emiti mu kibira, kubanga ebyokulwanyisa bye banaafumbisanga. Era balinyaga abo abaabanyaganga, baliggya ebintu ku abo abaabaggyangako ebyabwe.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'okutyaba ne batatyaba nku mu ttale so tebalitema nku zonna mu kibira; kubanga balibissaako omuliro ebyokulwanyisa: era balinyaga abo abaabanyaganga, era balibaggyako abo abaaggyangako, bw'ayogera Mukama Katonda.