Ezekiel 39:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ku olwo Gogi ndimuwa ekifo eky'erinnya mu Yisirayeli w'aliziikibwa, kye Kiwonvu Obarimu mu buvanjuba bw'ennyanja, ekiyimiriza n'abatambuze; eyo gye baliziika Gogi n'ebbiina lye lyonna; ekiwonvu kyekiriva kiyitibwa Amoni-Gogi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Ku lunaku olwo ndiwa Googi ekifo eky’okuziikamu mu Isirayiri mu kiwonvu ky’abatambuze ku luuyi olw’ebuvanjuba ku Nnyanja ey’Omunnyo. Kiriziba ekkubo ly’abatambuze, kubanga Googi n’enkuyanja y’abantu be baliziikibwa eyo. Era kiriyitibwa ekiwonvu kya Kamonugoogi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Awo olulituuka ku lunaku olwo ndiwa Googi ekifo eky'okuziikamu mu Isiraeri, ekiwonvu ky'abatambuze ku luuyi olw'ennyanja olw'ebuvanjuba. Kiriziba ekkubo ly'abatambuze, kubanga baliziika eyo Googi n'enkuyanja y'abantu be bonna. Kale balikiyita nti, ‘Kiwonvu Kamonugoogi.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ebyo byonna bwe biribaawo, ku lunaku olwo ndiwa Googi ekifo eky'okuziikangamu mu Yisirayeli, mu Kiwonvu ky'Abatambuze ku ludda lw'ennyanja olw'ebuvanjuba, era kiriziyiza abo abayitamu. Eyo gye baliziika Googi n'eggye lye lyonna, kyekiriva kiyitibwa Ekiwonvu ky'Eggye lya Googi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka ku lunaku olwo ndiwa Googi ekifo eky'okuziikamu mu Isiraeri, ekiwonvu ky'abo abayitamu ku luuyi olw'ennyanja olw'ebuvanjuba: era kiriziyiza abo abayitamu: era baliziika eyo Googi n'olufulube lwe lwonna: kale balikiyita nti Kiwonvu Kamonugoogi.