Ezekiel 39:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abantu bonna ab'ensi balibaziika; luliba lunaku lwa ttendo gye bali lwe ndigulumizibwako, Omukama Katonda y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bonna ab’omu nsi balibaziika, era luliba lunaku lwa kujjukiranga era lwe lunaku lwe ndigulumizibwa, bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weewaawo, abantu bonna ab'omu nsi balibaziika; era kiriba kya kaati gyebali ku lunaku lwe ndigulumizibwa, bw'ayogera Mukama Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala abantu bonna mu ggwanga balyetaba mu kubaziika, era kiribaweesa ekitiibwa ku lunaku lwe ndigulumizibwa. Nze Mukama njogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, abantu bonna ab'omu nsi balibaziika; era kiriba kya kaati gye bali ku lunaku lwe ndigulumizibwa, bw'ayogera Mukama Katonda.