Ezekiel 39:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waliteekebwawo abantu ab'olubeerera abaligenda nga bayitaayita wonna mu nsi nga baziika abo abaliba bakyasigadde ku ngulu, ensi bagitukuze. Oluvannyuma lw'emyezi omusanvu balitandika ogw'okunoonya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wanaabangawo abasajja abanaapangisibwanga okukola omulimu ogw’okutukuza ensi. Abamu ku bo banaayitanga mu nsi nga bakola omulimu ogwo, n’abalala banaaziikanga emirambo gy’abo egirisigala kungulu. “ ‘Oluvannyuma olw’emyezi omusanvu balitandika okunoonya abaafa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era balisaawo abasajja okukola omulimu gw'okulongoosa ensi, nga bayita mu nsi okunoonya n'okuziika abatambuze abalisigala ku ngulu ku nsi. Oluvannyuma lw'emyezi musanvu balitandika okunoonya abafu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emyezi omusanvu nga giweddeko, walirondebwawo abasajja okuba n'omulimu ogw'olubeerera ogw'okuyitanga mu ggwanga lyonna, okunoonya n'okuziika abo abalisigala ku ngulu nga tebannaziikibwa, balyoke basobole okulongoosa ensi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era balyawulamu abasajja okuba n'omulimu ogw'olutata, abanaayitanga mu nsi okuziika abo abaliyitamu, abalisigala ku maaso g'ensi, okugirongoosa: emyezi musanvu nga giweddeko balinoonya.