Ezekiel 39:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baliyitaayita wonna mu nsi; omu bw'aligwikirizanga eggumba ly'omuntu, ng'assaawo akabonero we liri okutuusa abaziisi nga baliziise mu Kiwonvu kya Amoni-Gogi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baliba nga bayita mu nsi, omu n’alaba eggumba ly’omuntu, aliteeka akabonero mu kifo ekyo, okutuusa abaziika bwe baliba bayita ne balaba akabonero ne baliziika mu kiwonvu kya Kamonugoogi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abo abanaayitanga mu nsi, bwe banaalabanga eggumba ly'omuntu yenna, anaasimbangako akabonero, okutuusa abaziisi lwe baliriziika mu kiwonvu Kamonugoogi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abo abaligenda bayitaayita mu ggwanga, bwe banaalabanga eggumba ly'omuntu, banaasimbangawo akabonero, okutuusa abaziisi lwe baliriziika mu Kiwonvu ky'Eggye lya Googi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abo abayita mu nsi baliyitamu; awo omuntu yenna bw'anaalabanga eggumba ly'omuntu, kale anaasimbangako akabonero, okutuusa abaziisi lwe baliriziika mu kiwonvu Kamonugoogi.