Ezekiel 39:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Mwana w'omuntu, Omukama Katonda kino ky'agamba: Yita buli kinyonyi kya buli kika na buli kisolo kya ttale nti: “Mujje okuva wonna, mukuŋŋaanire awali ekitambiro kyange kye mbategekedde, ekitambiro ekinene ku nsozi za Yisirayeli, mulye ennyama, munywe n'omusaayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Koowoola buli kika ky’ennyonyi n’ebisolo byonna ebikambwe obigambe nti, ‘Mukuŋŋaane, mujje okuva mu njuyi zonna eri ssaddaaka gye mbateekeddeteekedde, ssaddaaka ennene ku nsozi za Isirayiri, mulye ennyama munywe n’omusaayi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naawe, omwana w'omuntu, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Yogera n'ennyonyi ez'engeri zonna na buli nsolo ey'omu nsiko nti Mukuŋŋaane, mujje mukuŋŋaane okuva enjuyi zonna eri ssaddaaka yange gye mbateekeddeteekedde, ssaddaaka ennene ku nsozi za Isiraeri, mulye ennyama, munywe n'omusaayi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna n'agamba nti: “Era ggwe omuntu, gamba ebinyonyi byonna n'ebisolo byonna eby'omu ttale nti: ‘Mwekuŋŋaanye mujje mukuŋŋaane okuva ku njuyi zonna, mujje ku kitambiro kye mbaweerayo, ekitambiro ekinene ku nsozi z'omu Yisirayeli, mulye ennyama, munywe n'omusaayi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe, omwana w'omuntu, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Yogera n'ennyonyi ez'engeri zonna na buli nsolo ey'omu nsiko nti Mukuŋŋaane mujje; mukuŋŋaane enjuyi zonna eri ssaddaaka yange gye mbaweerayo, ssaddaaka ennene ku nsozi za Isiraeri, mulye ennyama, munywe omusaayi.