Ezekiel 39:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Munaalya ennyama y'abazira ne munywa n'omusaayi gw'abafuzi b'ensi nga bwe bandibadde endiga ennume, obuliga, embuzi ennume n'ente ennume, zonna ensolo ensava ez'omu Basani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulirya ennyama ey’abalwanyi ab’amaanyi, era mulinywa omusaayi gw’abalangira ab’ensi, ng’abanywa ogw’endiga ennume n’obuliga obuto, ogw’embuzi n’ente ziseddume, zonna ensava ez’e Basani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mulirya ennyama ey'ab'amaanyi, ne munywa omusaayi gw'abalangira ab'ensi, ogw'endiga ennume n'ogw'abaana b'endiga n'ogw'embuzi, n'ogw'ente ennume, zonna eza ssava ez'e Basani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulirya emirambo gy'ab'amaanyi, ne munywa omusaayi gw'abafuzi b'ensi, ogw'endiga eza sseddume n'ogw'endiga ento; ogw'embuzi n'ogw'ente ennume, zonna ezassava eziva e Basani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mulirya ennyama ey'ab'amaanyi, ne munywa omusaayi gw'abalangira ab'ensi, ogw'endiga ennume n'ogw'abaana b'endiga n'ogw'embuzi, n'ogw'ente ennume, zonna za ssava eza Basani.