Ezekiel 39:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kukukyusa otunule ennyuma nkuwaleewale. Ndikuggya ewala eyo emambuka ne nkuleeta ku nsozi za Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikukyusa nkukulule, era ndikuggya mu bukiikakkono obw’ewala ne nkutuma eri ensozi za Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndikukyusa ne nkuggya okuva e bukiikakkono obw'ewala ennyo, ne nkutuusa ku nsozi za Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikukwata ku nkoona ne nkukyusa, ne nkukunguzza okukuggya ewala mu bukiikakkono, ne nkutuusa ku nsozi z'omu Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ndikuzzaayo, ne nkutwala mu maaso ne nkulinnyisa okuva mu njuyi ez'obukiika obwa kkono ezikomererayo; ne nkutuusa ku nsozi za Isiraeri: