Ezekiel 39:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ekitiibwa kyange nzija kukyolesa mu mawanga, n'amawanga gonna galiraba engeri gye mbonerezaamu n'omukono gwe mbagololeddeko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ndyoleka ekitiibwa kyange mu mawanga, era amawanga gonna galiraba ekibonerezo kye ndikuwa, nga n’omukono gwange gubateekeddwaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era nditeeka ekitiibwa kyange mu mawanga, n'amawanga gonna galiraba ekibonerezo kye ndikuwa, n'omukono gwange gwe mbataddeko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Amawanga ndigooleka ekitiibwa kyange, ne balaba bwe nnina obuyinza okutuukiriza bye nsazeewo okukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nditeeka ekitiibwa kyange mu mawanga, n'amawanga gonna galiraba omusango gwange gwe ntuukirizza, n'omukono gwange gwe mbataddeko.