Ezekiel 39:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'amawanga galimanya nti ennyumba ya Yisirayeli yagenda mu buwaŋŋanguse lwa bibi byabwe, tebaali beesigwa gye ndi; nange kwe kubakweka amaaso gange ne mbawaayo mu mikono gy'abalabe baabwe, bonna ne bafa ekitala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amawanga galimanya ng’abantu ba Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse olw’ebibi byabwe, kubanga tebaali beesigwa gye ndi. Kyenava mbakweka amaaso gange ne mbawaayo mu mukono gw’abalabe baabwe, bonna ne battibwa ekitala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amawanga galimanya ng'ennyumba ya Isiraeri baagenda mu busibe olw'obutali butuukirivu bwabwe; kubanga bansobya ne mbakweka amaaso gange ne mbawaayo mu mukono gw'abalabe baabwe, bonna ne battibwa n'ekitala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'amawanga amalala galimanya ng'ab'Eggwanga lya Yisirayeli, baawaŋŋangusibwa lwa bibi byabwe, kubanga baayonoona, ne mbaabulira, ne ndeka abalabe baabwe okubawangula n'okubattira mu lutalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amawanga galimanya ng'ennyumba ya Isiraeri baagenda mu busibe olw'obutali butuukirivu bwabwe; kubanga bansobya ne mbakisa amaaso gange: kale ne mbawaayo mu mukono gw'abalabe baabwe, ne bagwa bonna n'ekitala.