Ezekiel 39:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Kale nno Omukama Katonda kino ky'agamba: Nzija kukomyawo abasibe ba Yakobo, nzija kusaasira ennyumba ya Yisirayeli, ndikwatirwanga obuggya erinnya lyange ettukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo Mukama Katonda ayogera nti, Ndikomyawo Yakobo okuva mu buwaŋŋanguse, era ndikwatirwa ekisa ennyumba ya Isirayiri yonna, era ndirwanirira erinnya lyange ettukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kaakano nnaakomyawo obusibe bwa Yakobo, ne nsaasira ennyumba yonna eya Isiraeri; era ndikwatirwa erinnya lyange ettukuvu obuggya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale Mukama Afugabyonna agamba nti: “Naye kaakano, olw'okulumirwa ekitiibwa ky'erinnya lyange, nja kukwatirwa ekisa bazzukulu ba Yakobo, ab'Eggwanga lya Yisirayeli mbaggyeyo gye baatwalibwa nga basibe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kaakano nnaakomyawo obusibe bwa Yakobo, ne nsaasira ennyumba yonna eya Isiraeri; era ndikwatirwa erinnya lyange ettukuvu obuggya.