Ezekiel 39:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balyerabira okuswala kwe baaswalamu n'obutali bwesigwa bwe bandaga bwe balimala okutuula entende mu nsi awatali n'omu abakanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balyerabira okuswazibwa kwabwe, n’obutali bwesigwa bwe bandaga, bwe baabeera mu nsi yaabwe emirembe, nga tebaliiko abatiisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balyerabira okuswazibwa kwabwe n'okusobya kwabwe kwonna kwe bansobya, bwe balituula mu nsi yaabwe nga tebaliiko kye batya, so nga tewali abatiisa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe balitebenkera emirembe mu nsi yaabwe nga tebaliiko abatiisa, balyerabira bwe baaswazibwa olw'obutaba beesigwa gye ndi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era balibaako ensonyi zaabwe n'okusobya kwabwe kwonna kwe bansobya, bwe balituula mu nsi yaabwe nga tebaliiko kye batya, so nga tewali alibatiisa;