Ezekiel 39:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe ndimala okubaggyayo mu mawanga ne mbakuŋŋaanya wamu okuva mu nsi y'abalabe baabwe, mu bo ndiragiramu obutukuvu bwange mu maaso g'amawanga amangi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe ndibakomyawo okuva mu mawanga, nga mbakuŋŋaanyizza okuva mu nsi ez’abalabe baabwe, ndyoleka obutukuvu bwange mu bo eri amawanga mangi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bwe ndiba nga mbakomezzaawo okubaggya mu mawanga, era nga mbakuŋŋaanyizza okuva mu nsi ez'abalabe baabwe, era nga ntukuziddwa mu bo mu maaso g'amawanga amangi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe ndimala okubaggya mu mawanga, ne mbakomyawo nga mbakuŋŋaanyizza okuva mu nsi z'abalabe baabwe, ndiraga amawanga mangi nga bwe ndi omutuukirivu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe ndiba nga mbakomezzaawo okubaggya mu mawanga, era nga mbakuŋŋaanyizza okuva mu nsi ez'abalabe baabwe, era nga ntukuzibwa mu bo mu maaso g'amawanga mangi.