Ezekiel 39:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo balimanya nti nze Mukama Katonda waabwe, nti newandibadde nga nabawaŋŋangusiza mu mawanga, naye ndibakuŋŋaanyiza mu nsi yaaboobwe, era sirirekayo yadde omu ku bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda, kubanga nabasindika mu buwaŋŋanguse mu mawanga, ate ne mbakuŋŋaanya eri ensi yaabwe, ne sirekaayo n’omu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe, kubanga n'abasindika mu busibe mu mawanga, era nga mbakuŋŋaanyizza mu nsi yaabwe bo; so ssirireka nate n'omu ku bo okubeera eyo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'abantu bange balimanya nga Nze Mukama, Katonda waabwe. Ekyo balikimanya, kubanga nze nabasindika okuwaŋŋangukira mu mawanga nga basibe, era kaakano nze mbakuŋŋaanyizza ne mbakomyawo mu nsi yaabwe, ne sirekaayo n'omu ku bo okubeera eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe, kubanga nabasindika mu busibe mu mawanga, era nga mbakuŋŋaanyizza mu nsi yaabwe bo; so sirireka nate n'omu ku bo okubeera eyo;