Ezekiel 39:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oligwa ku nsozi za Yisirayeli: ggwe, eggye lyo n'amawanga agali naawe; ndikugabula ennyonyi enkwakkuzi eza buli kika n'ebisolo eby'ettale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oligwa ku nsozi za Isirayiri ggwe n’eggye lyo lyonna n’amawanga agali naawe; ndibawaayo eri ensega eza buli ngeri n’eri buli nsolo enkambwe mufuuke emmere yaazo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oligwa ku nsozi za Isiraeri, ggwe n'eggye lyo lyonna n'amawanga agali naawe: ndikuwaayo eri ennyonyi ez'amaddu ez'engeri zonna n'eri ensolo ez'omu nsiko okuliibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe n'eggye lyo lyonna n'abantu abalala abali naawe, muligwa ku nsozi z'omu Yisirayeli, ne mbagabula eri ebinyonyi ebya buli ngeri n'ebisolo eby'omu ttale, bibeekavvulire.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oligwa ku nsozi za Isiraeri, ggwe n'eggye lyo lyonna n'amawanga agali naawe: ndikuwaayo eri ennyonyi ez'amaddu ez'engeri zonna n'eri ensolo ez'omu nsiko okuliibwa.