Ezekiel 39:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'erinnya lyange ettukuvu ndirimanyisa mu bantu bange Yisirayeli; siriddayo kuleka linnya lyange ettukuvu kwonoonebwa, n'amawanga galimanya nti nze Mukama, Omutukuvu wa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Ndimanyisa abantu bange Isirayiri Erinnya lyange ettukuvu. Siriganya linnya lyange kuddayo kuvumibwa, era amawanga galimanya nga nze Mukama, Omutukuvu mu Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era ndimanyisa erinnya lyange ettukuvu wakati mu bantu bange Isiraeri; so siriganya erinnya lyange ettukuvu kuvumibwa nate, kale amawanga galimanya nga nze Mukama, Omutukuvu mu Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndimanyisa abantu bange Abayisirayeli bwe ndi Omutuukirivu, era siriddayo kuvumibwa. Olwo amawanga galimanya nga Nze Mukama, Omutuukirivu wa Yisirayeli.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndimanyisa erinnya lyange ettukuvu wakati mu bantu bange Isiraeri; so siriganya erinnya lyange ettukuvu okulivuma nate: kale amawanga galimanya nga nze Mukama, Omutukuvu mu Isiraeri.