Ezekiel 39:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kijja; kijja kugwaawo, Omukama Katonda y'agamba; luno lwe lunaku lwe nayogerako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiseera kyakyo kituuse era kirituukirira, bw’ayogera Mukama Katonda. Luno lwe lunaku lwe nayogerako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kijja, era kirikolebwa, bw'ayogera Mukama Katonda; luno lwe lunaku lwe nnayogerako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Olunaku lwe njogeddeko terulirema kubaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, kijja, era kirikolebwa, bw'ayogera Mukama Katonda; luno lwe lunaku lwe nnayogerako.