Ezekiel 39:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Olwo abasula mu bibuga bya Yisirayeli balibifuluma ne bateekera omuliro ne bookya ebyokulwanyisa: engabo empaala n'engabo entono, emisaale, obusaale, embuukuuli n'amafumu; balibyokera emyaka musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Abo ababeera mu bibuga bya Isirayiri balifuluma ne bakozesa ebyokulwanyisa ng’enku era balibikumako omuliro, engabo entono n’engabo ennene, emitego n’obusaale n’ebiti ebinene n’amafumu. Balibikozesa ng’enku okumala emyaka musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abo abatuula mu bibuga bya Isiraeri balifuluma, ne babissaako omuliro eby'okulwanyisa, engabo ennene ne ntono, emitego n'obusaale, emiggo n'amafumu, balibikozesa ng'enku okumala emyaka musanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ababeera mu bibuga bya Yisirayeli, balifuluma ne bakuŋŋaanya ebyokulwanyisa ebirekeddwa awo, ne babifuula enku. Balikuma omuliro ku ngabo ennene n'obugabo obutono, emitego gy'obusaale, emiggo egy'omu ngalo, n'amafumu, ne bibamala okukuma omuliro okumala emyaka musanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abo abatuula mu bibuga bya Isiraeri balifuluma, ne babissaako omuliro ebyokulwanyisa, engabo era n'obugabo, emitego n'obusaale, n'emiggo egy'omu mukono n'amafumu, balibissizaako omuliro emyaka musanvu: