Ezekiel 4:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ekipimo ky'amazzi g'onoonywanga kinenkananga ekyomukaaga kya yini; ojja kuganywanga mu kadde akagereddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate opime nga kitundu kya lita ey’amazzi, oganywe mu biseera ebigere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era onoonywanga n'amazzi amapime, ekitundu ekya yini eky'omukaaga, onooganyweranga mu kiseera kye kimu buli lunaku.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'amazzi onoonywanga mapime, ebitundu bibiri byakusatu ebya lita, ng'oganywera mu kiseera kye kimu buli lunaku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era onoonywanga amazzi agagerebwa, ekitundu ekya yini eky'omukaaga: onoonyweranga mu ntuuko zaago.