Ezekiel 4:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omugaati gwo ojja kugulyanga ng'alya obundaazi obwa sayiri; ojja kugufumbiranga awo mu maaso g'abantu nga weeyamba obubi bw'abantu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olye emmere nga bwe wandiridde keeke eya sayiri; ogifumbe n’obusa bw’omuntu, ng’abantu balaba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emmere onoolyanga nkalirire, nga migaati gya sayiri, era onoogikaliriranga ku manda ga mpitambi ya bantu, ng'ogikalirira abantu nga balaba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emmere onoolyanga nkalirire nga migaati gya bbaale, era onoogikaliriranga ku manda ga mpitambi ya bantu, ng'ogikalirira abantu balaba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era onoogiryanga nga migaati gya sayiri, era onoogyokeranga mu mazzi agava mu bantu, bo nga balaba.