Ezekiel 4:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba nti “Abayisirayeli bwe balirya batyo emmere enjama mu mawanga gye nabagobera.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’aŋŋamba nti, “Mu ngeri eno abantu ba Isirayiri baliriira emmere etali nnongoofu mu mawanga gye ndibasindika.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'agamba nti, “Era bwe batyo n'abaana ba Isiraeri bwe banaalyanga emmere etali nnongoofu mu mawanga gye ndibasaasaanyiza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'agamba nti: “Bwe batyo Abayisirayeli bwe banaalyanga emmere eteri nnongoofu, nga bali mu mawanga gye ndibasaasaanyiza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'ayogera nti Era bwe batyo n'abaana ba Isiraeri banaalyanga emmere yaabwe nga si nnongoofu mu mawanga gye ndibagobera.