Ezekiel 4:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ŋŋamba nti: “Yii! Mukama Katonda, seejaajaamyangako; okuva obuto bwange n'okutuusa kati siryanga nnyama ya kalannamye oba ebitaaguju; ennyama eyeenyinyalwa teyitangako mu kamwa kange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne njogera nti, “Nedda Ayi Mukama Katonda. Sseeyonoonesanga, era okuva mu buto bwange n’okutuusa kaakano siryanga kifu wadde ekitaaguddwataaguddwa ensolo enkambwe. Siryanga nnyama etali nnongoofu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda! laba nze sseeyonoonanga, kubanga okuviira ddala mu buto bwange n'okutuusa kati, siryanga ku nnyama ya nsolo efudde yokka, wadde etaaguddwa ensolo, era siryanga ku kintu ekiyitibwa eky'omuzizo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ŋŋamba nti: “Woowe, Mukama, Katonda! Laba, nze sseeyonoonanga, kubanga okuviira ddala mu buto bwange n'okutuusa kati, siryanga ku nnyama ya nsolo efudde yokka, wadde etaaguddwa nsolo ginnaayo, era siryanga ku kintu ekiyitibwa eky'omuzizo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne njogera nti Woowe, Mukama Katonda! Laba, emmeeme yange teyonoonebwanga: kubanga okuva ku buto bwange na buli kati siryanga ku ekyo ekifa kyokka newakubadde ekitaaguddwa ensolo; so n'ennyama ey'omuzizo teyingiranga mu kamwa kange.