Ezekiel 4:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate n'aŋŋamba nti: “Mwana w'omuntu, nze nzija kusalako ekisakirira emmere mu Yeruzaalemu; emmere banaagiryanga ngereke nga beeraliikirivu, n'amazzi banaanywanga mu bipimo nga batekemuse,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’oluvannyuma n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, ndisalako emmere eri mu Yerusaalemi. Abantu balirya emmere engere mu kutya, ne banywa amazzi amapime mu kutya,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate n'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, laba, ndikendeeza emmere mu Yerusaalemi, kale banaalyanga emmere nga mpime nga beeraliikirira, era banaanywanga amazzi nga magere mu kutya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'ayongera okuŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, ndikendeeza emmere mu Yerusaalemu. Banaalyanga mpime nga beeraliikirivu. N'amazzi banaanywanga magere bugezi, nga bennyamivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, laba, ndimenya omuggo ogw'omugaati mu Yerusaalemi: kale banaalyanga omugaati nga bagupima era nga beeraliikirira; era banaanywanga amazzi nga bagagera era nga basamaalirira: