Ezekiel 4:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga olw'emmere n'amazzi okubula, buli omu wa kukenena; baliyenjebuka olw'ebibi byabwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga emmere n’amazzi biriba bya bbula. Tebalyagala kwetunulako, era baliggwaawo olw’ekibi kyabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balibulwa emmere n'amazzi, batunulaganeko nga basobeddwa, baliyongobera olw'ebibi byabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balibulwa emmere n'amazzi, batunulaganeko nga basobeddwa, bayongobere olw'ebibi byabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
babulwe omugaati n'amazzi, era basamaaliriragane, ne bayongoberera mu butali butuukirivu bwabwe.