Ezekiel 4:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ddira olusaniya olw'ekyuma olusse nga bbugwe ow'ekyuma wakati wo n'ekibuga; kyuka okitunuulire kibeere nga kizindiddwa, okizingize. Kano kabonero eri ennyumba ya Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Oluvannyuma oddire olukalango olw’ekyuma, oluteeke okuba bbugwe ow’ekyuma wakati wo n’ekibuga, okyuke okitunuulire. Kiriba mu mbeera ey’okuzingizibwa, era naawe kizingize. Ako kaliba kabonero eri ennyumba ya Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ddira ekikalango eky'ekyuma okiteekewo okuba bbugwe ow'ekyuma wakati wo n'ekibuga. Okyuke okitunuulire, kibe nga kizingiziddwaako ke kanaaba akabonero akalabula ennyumba ya Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kwata olusaniya olw'ekyuma, oluteekewo okuba ekigo eky'ekyuma wakati wo n'ekibuga. Otunuulire ekibuga kibe nga kizingiziddwa, nga ggwe okizingizizza. Ako ke kanaaba akabonero akalabula Eggwanga lya Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era weddirire ekikalango eky'ekyuma okiteekewo okuba bbugwe ow'ekyuma wakati wo n'ekibuga: okisseeko amaaso go, kale kirizingizibwa, naawe olikizingiza. Ako kaliba kabonero eri ennyumba ya Isiraeri.