Ezekiel 4:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nkusalidde ennaku ebikumi bisatu mu kyenda okwenkana n'omuwendo gw'ennaku z'ekibi kyabwe. Bw'otyo bw'ojja okwetikka omusango gw'ekibi ky'ennyumba ya Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennaku z’olimala ezenkanankana emyaka gye baamala nga boonoona. Noolwekyo olimala ennaku ebikumi bisatu mu kyenda nga weetisse ekibi ky’ennyumba ya Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennaku z'olimala ziri bisatu mu kyenda (390), nga weetisse obutali butuukirivu bw'ennyumba ya Isiraeri: Zino zenkanankana n'omuwendo gw'emyaka gye balimala nga babonerezebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkusalidde omuwendo gwa nnaku ebikumi bisatu mu kyenda, ogwenkana n'omuwendo gw'emyaka gye balimala nga babonerezebwa. Bw'otyo bw'onoomala ennaku ezo nga weetisse ebibi by'ab'Eggwanga lya Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ntaddewo emyaka egy'obutali butuukirivu bwabwe okuba gy'oli omuwendo gw'ennaku, ennaku ebikumi bisatu mu kyenda: bw'otyo bw'olyetikka obutali butuukirivu obw'ennyumba ya Isiraeri.