Ezekiel 4:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'olimala ebyo, ne weebaka ogwokubiri, ku mulundi guno weebakire ku ddyo, weetikke omusango gw'ekibi ky'ennyumba ya Yuda. Nkusalidde ennaku amakumi ana; olunaku gwe mwaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ekyo bw’olikimala, oligalamira nate, ku mulundi guno ku lubiriizi lwo olwa ddyo, ne weetikka ekibi ky’ennyumba ya Yuda. Olimala ennaku amakumi ana, buli lunaku mwaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate bw'olimala ekyo, olyebakira ku ludda lwo olwa ddyo, okw'etikka obutali butuukirivu obw'ennyumba ya Yuda. Olimala ennaku ana (40), buli lunaku mwaka ogw'okubonerezebwa kwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'olimalako ennaku ezo, olyebakira ku ludda lwo olwa ddyo, oboneebone olw'ebibi by'ab'omu Buyudaaya, okumala ennaku amakumi ana, buli lunaku mwaka ogw'ekibonerezo kyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate bw'oliba ng'omaze ezo, oligalamiririra ku lubiriizi lwo olwa ddyo, olyetikka obutali butuukirivu obw'ennyumba ya Yuda: ennaku amakumi ana, buli lunaku mwaka, bwe nnabuteekerawo gy'oli.