Ezekiel 4:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ddira eŋŋano, sayiri, ebijanjaalo, empokya, obulo ne kusemesi, obisse mu nsumbi emu weefumbiremu omugaati. Kw'onoolyanga mu nnaku ebikumi ebisatu mu ekyenda z'onoomala nga weebakidde ku lubiriizi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ddira eŋŋaano ne sayiri, n’obulo, n’omukyere, n’ebijanjalo, n’enva endiirwa endala obisse mu kibya omuterekebwa, obikozese okwefumbira omugaati. Oligulya mu nnaku ezo ebikumi ebisatu mu ekyenda z’oliba ogalamidde ku luuyi olw’omubiri gwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era twala eŋŋaano, sayiri, ebijanjaalo, kawo, omuwemba n'obulo, obitabule wamu, obifumbemu emmere ey'omugoyo, gy'onoolyanga mu nnaku ebisatu mu ekyenda (390), z'olimala nga weebakidde ku ludda lwo olwa kkono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kaakano twala eŋŋaano, ne bbaale, n'ebijanjaalo, ne kawo, n'omuwemba, n'obulo, obitabule wamu, obifumbemu emmere ey'omugoyo, gy'onoolyanga mu nnaku ebikumi ebisatu mu ekyenda, z'olimala nga weebakidde ku ludda lwo olwa kkono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era weetwalire eŋŋaano ne sayiri n'ebijanjaalo ne kawo n'omuwemba n'obulo, obiteeke mu kintu ekimu, weegoyere omugaati nabyo; ng'omuwendo gw'ennaku z'oligalamiririra ku lubiriizi lwo, ennaku ebikumi bisatu mu kyenda, bw'onooliirangako bw'otyo.