Ezekiel 40:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogw'abiri mu etaano ogw'okuwaŋŋangusibwa kwaffe, mu masooka g'omwaka, ku lw'ekkumi olw'omwezi, mu mwaka ogw'ekkumi n'ena bukya kibuga kizikirizibwa, mu lunaku luno lwennyini omukono gw'Omukama ne gunzijako, ne guntwala eyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku ntandikwa ey’omwaka ogw’amakumi abiri mu etaano nga tuli mu buwaŋŋanguse, ku lunaku lw’omwezi ogw’ekkumi, oluvannyuma lw’emyaka kkumi n’ena ng’ekibuga kigudde, omukono gwa Mukama ne gunzikako ku lunaku olwo lwennyini, n’antwalayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka ogw'abiri mu etaano (25) ogw'obuwaŋŋanguse bwaffe, omwaka nga kye gujje gutandike, ku lunaku olw'ekkumi (10) olw'omwezi mu mwaka ogw'ekkumi n'ena (14) ekibuga nga kimaze okumenyebwa, ku lunaku olwo omukono gwa Mukama ne guba ku nze, n'antwalayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwali lunaku olw'ekkumi, ng'omwaka kye gujje gutandike, gwe mwaka ogw'amakumi abiri mu etaano nga tuli mu buwaŋŋanguse, era nga gwe mwaka ogw'ekkumi n'ena bukya Yerusaalemu kiwangulwa. Ku lunaku olwo lwennyini, amaanyi ga Mukama ne gankwatako ne gantwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu etaano ogw'okusibibwa kwaffe omwaka nga kye gujje gutanule ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi mu mwaka ogw'ekkumi n'ena ekibuga nga kimaze okumenyebwa, ku lunaku olwo omukono gwa Mukama ne guba ku nze, n'antwalayo.