Ezekiel 40:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Munda w'omulyango gw'ebuvanjuba waaliyo obuzigo busatu ku buli luuyi, bwonsatule nga bwa bipimo bye bimu, n'ebisenge ebiyiseemu ku njuyi zombi nga bya bunene bwe bumu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munda mu mulyango ogw’Ebuvanjuba mwalimu obusenge obw’abakuumi busatu ku njuyi zombi, bw’onsatule nga bwenkanankana obunene, nga n’ebbanga wakati waabwo lyenkanankana obunene.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amayu ag'oku mulyango ebuvanjuba gaali asatu (3) eruuyi n'asatu (3) eruuyi; ago gonsatule ga kigera kimu n'emifuubeeto gyalina ekigera kimu eruuyi n'eruuyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obusenge obwo obw'abakuumi obusatu ku buli ludda olw'olukuubo, bwali bwenkanankana, era n'ebisenge wakati waabwo, byalina omubiri ogwenkanankana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amayu ag'oku mulyango ebuvanjuba gaali asatu eruuyi n'asatu eruuyi; ago gonsatule ga kigera kimu n'emifuubeeto gyalina ekigera kimu eruuyi n'eruuyi