Ezekiel 40:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu maaso ga buli kazigo waaliwo ekisenge nga kya mukono gumu obuwanvu; obuzigo bwali bwa njuyi ezenkanankana, emikono mukaaga ku mukaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu maaso ga buli kasenge waaliwo ekisenge obuwanvu kitundu kya mita, n’obusenge nga buli mita ssatu eruuyi ne mita ssatu eruuyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ebbanga eryali mu maaso g'amayu, omukono gumu eruuyi, n'ebbanga omukono gumu eruuyi; n'amayu emikono mukaaga eruuyi n'emikono mukaaga eruuyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu maaso g'obusenge bw'abakuumi obwali ku buli ludda, waaliwo ebbanga lya kimu kyakubiri ekya mita ku buli ludda. Ate bwo obusenge obwa buli ludda, bwali bwa mita ssatu ku njuyi zaabwo zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ebbanga eryali mu maaso g'amayu, omukono gumu eruuyi, n'ebbanga omukono gumu eruuyi; n'amayu emikono mukaaga eruuyi n'emikono mukaaga eruuyi.