Ezekiel 40:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'apima omulyango okuva ku kasolya k'ekisenge ky'akamu ku buzigo okutuusa ku kasolya k'ekisenge ekikitunuddemu, obuwanvu emikono abiri mu etaano okuva ku mulyango ogumu okutuusa ku gugutunuddemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’oluvannyuma n’apima obugazi bw’akasolya ak’ekibangirizi okuva ku kasenge akamu okutuuka ku kakoolekedde; okuva ku ntikko y’empagi okutuuka ku y’empagi eyookubiri waali mita kkumi na bbiri n’ekitundu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agera omulyango okuva ku nju waggulu okutuuka ku nju ginnaayo waggulu, obugazi emikono abiri mu etaano (25); oluggi nga lwolekera oluggi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'apima obugazi bw'olukuubo lwonna, okuva ku kisenge eky'emabega eky'akasenge akamu, n'eky'emabega eky'akasenge akalala nga bwe butunuuliganye, obugazi obwo ne buba mita kkumi na bbiri n'ekitundu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agera omulyango okuva ku nju waggulu okutuuka ku nju ginnaayo waggulu, obugazi emikono amakumi abiri mu etaano; oluggi nga lwolekera oluggi.