Ezekiel 40:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yapima n'ebisenge ebiyitamu, emikono nkaaga, n'okwetooloola wonna w'ekisasi ky'omulyango gw'oluggya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo embu bbiri ez’obusenge. N’apima ekibangirizi okuva ku kasenge akasooka ak’olubu olumu okutuuka ku kasenge akasembayo ak’olubu olwo. N’oluvannyuma n’apima n’ekibangirizi okuva ku kasenge akasooka ak’olubu olulala okutuuka ku kasenge akasembayo ak’olubu olwo olulala, wonna awamu n’afuna mita kkumi na ttaano buli lubu. Ekipimo ekyo tekitwaliramu kisasi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'akola n'emifuubeeto, emikono enkaaga (60); n'oluggya lwatuuka ku mufuubeeto, omulyango nga gwetooloola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akasenge akasemberayo ddala nga k'ovaamu okuyingira mu luggya, yakapima nga ka mita kkumi obugazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'akola n'emifuubeeto, emikono enkaaga; n'oluggya lwatuuka ku mufuubeeto, omulyango nga gwetooloola.